Buganda Anthem

BUGANDA ANTHEM

1.    Okuva edda n’edda elyo lyonna

Lin’eggwanga Buganda

            Anti lyamanyibwa nnyo eggwanga lyaffe

 

            Okwetoloola ensi zonna

 

Twesimye nnyo, twesimye nnyo

Olwa Buganda yaffe

Ekitiibwa kya Buganda kyava dda

Naffe tukikuumenga.

 

2.    Abazir’ennyo abatusooka

Balwana nnyo mu ntalo

Ne bayagala nnyo eggwanga lyaffe

Naffe tulyagalenga.

(Twesimye nnyo…)

 

3.    Ffe abaana ba leero katulwane

Okukuza Buganda

Nga tujjukira nnyo ba jjajja baffe

Abafiirir’ensi yaffe.

(Twesimye nnyo…)

 

4.    Nze nayimba ntya ne sitenda

Ssabasajja Kabaka

Asanira afuge O’buganda bwonna

 

 

Copyright © 2025 Kwagalakwe Primary School. All rights reserved. Powered by Azriel Digital Solutions Ltd